Ekiwandiiko The Common Man’s Charter
Akatabo ka The Common Man’s Charter, mu Luganda aba UPC kyebavvuunula nti Okununulibwa kw’omuntu owabulijjo, mu bufuunze kaali kefanaanyirizaako bwe kati:
Kaalimu obuwendo oba ebitundu ebyawuliddwamu 44 nga bikubiddwa ku mpapula 18. Ku lupapula olusooka munda, kwaliko ekifaananyi ky’Obote n’ennyanjula gyeyali awandiise ng’omukulembeze w’ekibiina. Ku lupapula olwokubiri, kwaliko enkola y’ekibiina kya UPC. Olwokuba nti ekibiina kino kye kyali mu buyinza, enkola eno yali eraga nga bwe kyali kyezizza enkiiko za disitulikiti, ez’ebibuga era n’enkolagana eyaliwo wakati w’ensi za East Africa. Wano nno mbu kye kyava kisalawo okuwagira Charter mbu olwo ebyagendererwa mu kwefuga biryoke bissibwe mu nkola nga tugoberera enkola eya Nnaakalyako-ani (Socialism).
Akawendo akokubiri, ku lupapula lwe lumu, Obote yannyonnyola nga UPC bwe kyali kigenda okumalawo okutya kwonna n’oluvannyuma wabeerewo obwenkanya, okwenkanankana, eddembe n’okwesiima eri abaana ba Uganda ab’omu mirembe egiribeerawo nga bayita mu kutambulira ku kkono.
Akawendo akokusatu, Obote yategeeza nga bwe bakkiririza mu nfuga eya Republic (awatali bwakabaka) era nga kino kyekyali ekinyusi mu kusalawo okutandika okutambulira ku kkono basobole okuziyiza omuntu yenna oba akabiina konna okusajjalaatira ku bantu abalala n’okubafuga bonna oba ekitundu ekimu ekya Uganda, nga bwe gwali mu mirembe ng’Obwakabaka bukyaliwo. Bo aba UPC baali baagala abantu ba Uganda be baba beramulira ebintu byabwe ebibakwatako!
Akawendo akokuna, Obote yategeeza nga ye n’ekibiina kye bwe besammulira ddala mu birowoozo ne mu bikolwa, Uganda oba ekintundu kyayo ekimu okubeera ettwale ly’omuntu omu; okusikira ebifo olw’obuzaale bw’omuntu nga bwe kiri mu b’olulyo olulangira; obwabifekeera oba obunyunyuunsi nabyo nga muziro! Abagwira okujja mu Uganda ne babeera n’ebintu byabwe ebikusike oba okugezaako okuwugula abantu b’ensi eno, ogwo nagwo nga muziro. Ebintu ebikolebwa okuvaamu amagoba agagenda okugasa abantu abatono nga nakyo muziro.
Akawendo akokutaano, Obote yategeeza nga UPC bwetakkiririza mu kitundu ekimu ekya Uganda okwesalako okuva ku Uganda oba yadde Uganda okweyawula ku nsi eziri mu mukago gw’obuvanyubwa bw’Africa (East African Community) okutwalira awamu.
Akawendo akomukaaga kaali kagamba nga bbo aba UPC okuviira ddala ku ntandikwa bwe baali bakkiririza mu buyinza bw’abantu (empowerment of the masses) era nga balagirwa nti buli kintu kyonna ekikolebwa mu Uganda kiba kirina kukolebwa ku lwa bulungi bw’abantu bonna era n’olw’ensonga eyo kye bava bakakasa bino wammanga:
i) Okuzimba Uganda ng’ensi emu erimu abantu bamu, olukiiko lumu ne gavumenti emu nga ya Republic;
ii) Okutaasa obwetwaze bwa Uganda n’okukuuma eddembe n’obutebenkevu wamu n’Entegeka y’obufuzi eya 1967;
iii) Okutereeza ekibiina kya UPC abantu bannansi basobole okubaako kye bakola ku ebyo ebikwata ku nsi yabooffe;
iv) Okulwanira ddala obutassa ngabo mu kugoba Obwavu, Obutamanya, Endwadde (Poverty, Ignorance and Disease) wamu n’obufuzi bw’amatwale obw’obumbula obutakubwa ku mukono n’okusosola okwa langi;
v) Okukulaakulanya eby’enfuna ya Uganda nga gavumenti yeyamba amakampuni gaayo, ebibiina eby’obwegassi, amakampuni g’abantu ge betandikira ku bwabwe, amakolero, abasuubuzi n’abalimi;
vi) Okutaasa buli muntu ali mu Uganda kasita abeeramu mu mateeka, awatali kusosola mu langi, eddiini oba olulyo lwe; asobole okweyagalira mu Uganda;
vii) Okukakasiza ddala nga tewaba muntu yenna munnayuganda aweebwa buyinza obukusike, oba embeera, oba ekitiibwa okusinziira ku buzaale bwe oba olulyo lwe mw’asibuka;
viii) Okulabira ddala nga mpaawo muntu ayinza kwekiika mu maaso g’emigaso gy’eggwanga, oba eddembe ly’omulala;
ix) Okuwagira ebibiina oba amawanga ebirina ebigenderwa oba ebiruubirirwa ebifaanana n’ebya UPC;
x) Okukolanga ebintu ebirala ebiringa ebyo UPC bye kigenderera okukola.
Akawendo akomusanvu kakkaatiriza nga Uganda bwe yamala edda okufuuka Republic okuva ku nfuga eya Federo era n’ey’ensikirano ey’obwakabaka. Obote yaggumiza ng’okulwanirira n’okukuuma obwetwaze bwe bitaali byakukoma, era ng’olutalo luno lwatandika nga 09/10/62. Yagamba nti olunaku olwo kyali kikyamu okulufuula kkome-kkome ng’ekkubo ly’e Bubebbere (end of the road) abantu webagabanira ebintu okusinziira ku ndowooza zaabwe.
Akawendo akomunaana kaali kanyweza ebigendererwa bya UPC okwewala enkola n’endowooza ey’obufuzi bw’amatwale n’okulekera awo okulowoolereza mu mawanga, okusuula ebbala endowooza y’okubeera n’ebintu ebikusike ebitakwatibwako.
Akawendo akomwenda, Obote yasojjasojja abafuzi ab’ensikirano mu lugezigezi bwe yagamba nti yali talaba nsonga yali ebobbesa bantu mitwe ng’ebiseera eby’okwefuga bisembera. Yagamba nti ebintu ebyayogerwangako ennyo nga bino:
a) Uganda bw’erimala okwefuga, tulifuna gavumenti ya ngeri ki?
b) Ani alibeera omutwe gw’eggwanga nga tumaze okwefuga?
Obote yagamba nti ebintu ebyo byazimbulukusibwa nnyo ne bituuka okulabika ng’ebikulu ennyo eri eggwanga. Wano Obote weyagambira nti amagezi ag’okuvvuunuka ebizibu ebyo bwe gaazuuka si ge gaali ag’okulongoosa embera y’omuntu owa bulijjo; naye olw’okuba ng’abo abaali abanyuunyuunsi (abafuzi ab’ensikirano) baali ng’abantu babalina mu ngalo, baalaba ng’okwefuga kyali kijja kuba kya kabi eri ebifo byabwe ebikusike. Awo nno mbu abafuzi bano kwe kusala amagezi ebifo byabwe babifuulire ddala eby’omugaso eri omuntu owa bulijjo, kwe kugamba nti ng’okwogera ku bifo byabwe ebyo nga kitegeeza kugendana n’omutindo gw’omuntu owa bulijjo. Obote mu kawendo kano yagamba nga bwe wataali kubuusabuusa nti ebifo by’abanyuunyuunsi bano byali bitangira omuntu owa bulijjo okwenyigira mu by’obufuzi bwa Uganda eyali yeefuga nga 09/10/62 kubanga abanyuunyuunsi (bakabaka) baayagala okwongera okufuga nga bwe baakolanga edda ng’Omungereza tannajja, ne bataagala omuntu owabulijjo okubaako ky’agamba mu kutereeza embeera ya Uganda eyeefuga. Kyokka kati embeera eyo mbu yali eggyiddwawo era ng’omuntu owabulijjo wa ddembe okwesalirawo ku mbeera ye n’atabeera muddu wa muntu munne. Abantu kati baddembe okwogera kaati kyonna ekibaluma kasita bakikola nga bayita mu mateeka g’ensi agatakolebwa mu nkiiko njawufu, wabula mu lukiiko olumu; National Assembly, abantu mwe balina eddoboozi erimu nga bayita mu babaka baabwe.
Akawendo akekkumi, Obote yagamba nga okufuulibwa kwa Uganda okuba Repabulika bwe kyali kigisembezza okumpi ne ggoolo ey’okwefuga okujjuvu era n’okwetakkuluza ku Bamwanawaani okuva mu 1966. Abantu abo bwe baali nga bakyali mu by’obufuzi n’eby’enfuna bya Uganda, kyali kizibu obutabafaako. Kisaana kimanyibwe nti abantu abalina enkola eya mwanawaani mu by’obufuzi n’eby’enfuna tebalema kusigala mabega mu bintu ebikwata ku nsi yaabwe n’ensi z’ebweru. Kati nno nga tumaze okuggyawo enkola eya mwanawaani mu by’obufuzi n’eby’enfuna tuteekwa okukola ebintu bibiri:
1. Okukkiriza ebifo ebyalimu bamwanawaani ab’edda okuddamu bamwanawaani abapya;
2. Okwewala okuleetawo bamwanawaani abapya abalina endowooza ya mwanawaani.
Akawendo akekkumi n’akamu; Obote yagamba nti okugoberera enkola ya Nnaakalyako ani kwe kutandikawo endowooza y’eby’obufuzi empya n’embeera empya etegeeza nti bannayuganda bonna awamu, ebintu ebikwata ku by’obulungi bwabwe ne ku ddoboozi lyabwe mu gavumenti y’eggwanga lyabwe ne ku bukiiko obulala obw’ebitundu nga byonna babitwala nga bikulu ddala. Enkola ya Nnaakalyako Ani ewakanya enkola eya Mwanawaani.
Akawendo akekkumi n’obubiri; Obote yajjukiza nga mu 1968 ekibiina kya UPC bwe kyayima mu lukiiko lwabwe ne kiyisa ekiteeso ekiggyawo enkola ezimba eggwanga erimu n’enkola ya Mwanawaani okusobola okussaawo enkola eya Repabulika. UPC kyasiima nnyo abakulembeze ba gavumenti olw’okutandikawo enkola empya eyali egenda okukyusa ku by’enfuna n’okuleetawo obwenkanya mu by’obufuzi n’embeera z’abantu ababulijjo. Ekibiina kya UPC kyasalawo abantu n’ebintu bissibwe ku mulimu gw’okuzimba eggwanga era ne kiragira olukiiko lwakyo olwa ttabamiruka (National Council) okwetegereza amakubo n’amagezi ag’okussa ebibiina byonna ebya gavumenti n’ebitali bya gavumenti okukolera awamu ne UPC mu kuzimba eggwanga.
Akawendo akekkumi n’obusatu; Obote yagamba nti baali bakimanyi bulungi nga bwe waaliwo abantu bangi abaali tebamanyi bulungi oba abaali bawubisibwawubisibwa ku mulimu gw’okuzimba eggwanga n’okutegeera obukulu bwagwo. Wano kwe kugamba nti kyali kibakakatako bbo ng’ekibiina okubuulirira abo abaali balimbibwalimbibwa n’okubatangaaza nga bwe kyali kisaanidde ebibiina byonna okukolera awamu n’abantu bonna mu kuweereza eggwanga.
Akawendo akekkumi n’obuna; Obote yagamba nti UPC bwe kiba ne kyekiteekateeka okukola olw’obulungi bw’abantu, kiba kitegeeza Abantu bamu, mu nsi emu, abalina gavumenti emu. Yagamba nti mu myaka omusanvu gye baali bamaze mu kwefuga UPC kyali kifubye nnyo okunnyonnyola nti omuntu okuba ow’ekika gundi, oba akawanga gundi, oba okwogera olulimi gundi, oba okusoma eddiini gundi, tekirina kye kimwongerako. Naye okuba munnayuganda kyo kirina kye kyongerera ddala ku muntu kubanga kimufunyisa byonna byateekwa okufuna n’asobola okukolera ab’ekika kye, akawanga ke, eddiini ye, ekitundu kye by’ateekwa okubakolera kasita biba nga tebiziyizibwa mateeka agayisibwa mu lukiiko lw’eggwanga.
Akawendo akekkumi n’obutaano; Obote yagamba nti mu myaka omusaavu bukya bannayuganda bafuna bwetwaze, UPC yali erabye nga bannayuganda bakwasi b’amateeka era abantu abaagala ennyo abantu b’omu maka gaabwe n’emiriraano ne Uganda yonna awamu okubaamu eddembe. Yayongera n’agamba nti bannayuganda era baali bategeera bulungi nga bwe kyali kisaanidde okugaziya eby’enfuna n’okusitula omulembe ogw’omuntu owabulijjo. Baali beegomba nnyo okusitula embeera z’obulamu bwabwe nga beetabira mu bibiina bya gavumenti era nga babirinamu eddoboozi erimala. Kyokka UPC yali erabyewo akabi akaali mu kirungi ekyo; ab’amawanga ag’ebweru okutulondera abakulembeze n’okweyingiza mu by’obufuzi bwa Uganda ng’ekigendererwa kwe kufunyisa amawanga gaabwe ebirungi kyokka nga beeyambisa bannayuganda okutuuka ku bye baagala. Tekyali mu nkola ya Uganda okugumiikiriza empisa ey’okwonoona ebirowoozo by’abantu n’okubaterebula mu byetaago byabwe.
Akawendo akekkumi nomukaaga; Obote yagamba nti UPC kati kyali kiraba ng’ekimu ku bintu Uganda bye yali eyolekedde okulowoozaako nga bye biseera by’abavubuka eby’omu maaso. Kino okusobola okukifumiitiriza obulungi, omuntu yali asaana okutunuulira omuwendo gw’abavubuka abali mu Yunivasite, amasomero ga ssekendule, aga pulayimale ne mu matendekero agatali gamu kyokka okwo ng’abaana abatudde obutuuzi eka tobagasseeko. Mukutunuulira emiwendo gy’abaana abo omuntu yali asobola okumanya ng’abo be bannayuganda abateekebwateekebwa okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okwongera okunyweza obwetwaze bwaffe n’okuggula amakubo amalala agalituusa bannayuganda ku kwefuga kwennyini mu by’enfuna n’embeera z’abantu.
Akawendo akekkumi nomusaanvu; Obote yagamba nti singa abavubuka batendekebwa kukolera mu gavumenti za buwanga bwabwe zokka (wano yali akoona Bwakabaka – Omuwandiisi) e mu nkiiko zaabwe mu mpisa zaabwe; ng’ebintu ebyo byeyambisibwa okwesalaasalamu obutundu n’ebibiina; olwo UPC yandibadde terina ky’eyambye ku mulimu gw’okukyusa Africa era n’abavubuka abo bandibadde tebaweereddwa ekyo ekibagwanira okutunuulira Uganda yonna mu kifo ky’okulowoolereza mu katundu akamu kokka. Uganda yali teyinza kukolera bavubuka baayo ttima lyenkana awo.
Akawendo akekkumi nomunaana; Obote yagamba nti UPC teyalina kulowooza ku bavubuka bokka, naye n’abakulu nabo baali ba muwendo ng’abavubuka. Yagamba nti abakadde n’abajenjebu nabo baali batekwa okulowoozebwako kubanga obuwanga (tribe) bwabwe bwokka ku bwabwo bwali tebukyasobola kubawa byetaago byabwe eby’omulembe guno oba n’okukuuma obulamu bwabwe n’ebintu byabwe oba okubayisa ng’abantu mu nsi yaabwe eyeefuga.
Akawendo akekkumi nomwenda; Obote yagamba nti akiddamu lunye nti olutalo lw’okwefuga terwalwanibwa kawanga kamu era terwali lwa bantu ba ddiini emu. Yagamba nti abafuzi Abangereza baawulira enduulu nga ziva mu nsonda za Uganda zonna. Olutalo terwalwanibwa okuzza ebitundu bya Uganda ebimu mu nnyombo z’obuwanga ez’edda (kirabika wano yali akoona Buganda ku masaza g’e Buyaga ne Bugangaizi – Omuwandiisi) ne mu butatabagana era n’entalo, wabula lwalwanibwa okuleetawo embeera empya abantu ba Uganda bonna mwe bali obumu, mu nsi emu era n’okweddiza ekitiibwa kyabwe bayisibwenga ng’abantu.
Akawendo akaabiri; Obote yagamba nti kyali kimanyiddwa bulungi nti Uganda yali nsi ekyakul era nti mu kukkiriza entegeka ey’enkola ya Nnaakalyako Ani UPC yali esoose kwetegereza nnyo ebintu nga bwe byali mu kiseera ekyo. Yagamba nti emyaka enkaaga mu omwenda (1894 – 1962) egy’enfuga y’abazungu bannayuganda gye baamala nga bayigirizibwa okumanya era n’okunywereza ddala enkola y’ekingereza gyali giviiriddemu abantu baffe okukulira mu ndowooza eyo era nga n’ebikolebwa bikolebwa mu ngeri eyo. Ebintu ebyaleetebwa Abangereza mu bbanga ery’obukuumi bwa Bungereza (British Protectorate), bannayuganda baabitwala nga byebisingira ddala obulungi mu kukulaakulanya eby’obugagga bwaffe ne mu nkolagana n’abantu. Bwe kityo ne kibeera nti mu bufuge ne mu kwefuga abantu baasigala mu mbeera y’obulamu eyaleetebwa abagwira. (Bannange kambuuze, olwo lwaki Obote yali takkiriza Buganda okwetakkuluza ku nfuga ey’ekipooli eyaleetebwa Abangereza? – Muwandiisi)
Akawendo akaabiri mu akamu; Obote yagamba nti UPC yali teyinza kukkiriza mawanga abiri okukulaakulanira mu Uganda; kwe kugamba erimu nga ggagga, liyigirize, ly’Afrika mu ndabika naye nga mu ndowooza ggwira (wano yali ategeeza Baganda – Omuwandiisi); ate eddala nga lye lirimu n’abantu abasingira ddala obungi kyokka lyo nga lyavu era n’okusoma nga terisomyeko. Yagamba nti bo aba UPC baali tebalowooza nti byonna eby’obuwangwa bwaffe obw’eky’Afrika kati bikkirizibwa ng’ebigoberera enkola ya Nnaakalyako Ani (wano yali ku bwakabaka n’empisa z’Abaganda); gamba UPC tekkiriza nti abakulembeze b’obuwanga bandibadde n’ebbeetu okukozesa abantu b’obuwanga obwo byonna bye baagala olw’obulungi bwabwe bo ng’abakulembeze. Obote yayongera okugamba nti mu ngeri y’emu baali tebakkiriza ng’enkola eya Mwanawaani (obwami n’obulangira – omuwandiisi) newandibadde nga enkola eno yali ebadde mu Uganda n’emu Afrika okumala emyaka mingi nnyo yali esaana esigale bwetyo. (Wano Obote yeerabira nti buli ggwanga n’ebyalyo. Ova otya e Lango gye basuusuuta akalo n’ojja e Buganda okubagamba nga amatooke bwe gataliimu? – omuwandiisi). Obote wano kwe kugamba nti Uganda yalina okulondawo ekimu ku bibiri: okusigala ku nkola eyasangibwawo ng’abafuzi b’amatwale bazze era netuyigirizibwa okugoberera eby’abagwira ebitalina musingi gutegeerekeka; oba okugoberera entegeka eya Nnaakalyako Ani egendera ku bintu nga bwe biri mu nsi yaffe. Bbo nga UPC baali basazeewo okugoberera enkola eya Nnaakalyako Ani.
Akawendo akaabiri mu obubiri; Obote yagamba nti bbo aba UPC baali tebakkiriza ekigambo ky’okubaawo akabinja akasoolooba ku balala era n’akabinja ako okukozesa obuyinza bwa Mwanawaani. Obote ne banne era baali bakkiriza nti okuva okuva mu byafaayo byaffe, si ntegeka ya bya njigiriza yaffe yokka ye yagoberera omusingi ogwaliwo nga tetunneefuga naye n’eby’obusuubuzi, n’amakolero n’abantu bennyini abaali mu gavumenti oba ebweru waayo; byonna byagenda biteekawo enjawulo wakati w’abaggagga n’abantu abalala abasinga obungi. Enkola ya Nnaakalyako Ani ye yokka eyali egenda okumalawo enjawulo eyo.
Akawendo akaabiri mu obusatu; Obote yagamba nti baali balabawo engeri bbiri eziyinza okuyamba n’okukuza ekitundu ky’abantu abamu ne baba n’enkizo ku balala:
1. Entegeka y’eby’enjigiriza egenderera okuteekawo abantu abalowooza nti olw’obuyigirize bwabwe bo be bafuga abo abatali bayigirize era n’okubalowoozaako ng’abaweereza baabwe.
2. Abayigirize, ate nga be batono, be basinga okuba n’emikisa egy’okufuna emirimu egy’okwekozesa bokka mu by’obusuubuzi n’eby’amakolero era n’okuweebwa emirimu mu gavumenti n’awalala. Kyokka abantu bano mu kifo ky’okukola kyonna ekisoboka okuyamba abo abataayigirizibwa okusobola okubenkana, badda mu kuyamba ba ηηaanda zaabwe. Enkola eno eviiramu ddala obuteesigwa mu by’emirimu era n’okukozesa obubi obuvunaanyizibwa.
Akawendo akaabiri mu obuna; Obote yagamba nti munnayuganda owabulijjo okukula kw’ensi yali akulowooleza mu kweyongera kufuna nsimbi mu nsawo ye. Ssente ezo ayinza okuba nga yali aziggya mu bibye bye yeekolera oba mu kukozesebwa. Wabula omuntu owabulijjo ky’asinga okulowoozaako ng’ekikulu ye gavumenti okumuteerawo ebintu eby’obwereere ensimbi ze zireme okugenda kw’ebyo bye yeetaga mu bulamu bwe naye zidde mu nsawo ye asobole okwekolera ebibye by’ayagala. Akabi akali mu kino kali nti omuntu oyo yeerabira nti mu kukulaakulanya ensi, gavumenti eba erina ebintu ebirala bisatu by’eteekwa okufaako era nga bye bino:
Like this:
Like Loading...